Numbers 33

Olugendo lw’Abaana ba Isirayiri okuva e Misiri okutuuka e Kanani

1 aBino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni. 2Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira.

Bino bye bitundu ebyo:
3 bAbaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi; 4 cng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.
5 dAbaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.
6 eNe bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.
7 fBwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.
8 gNe basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.
9 hNe bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.
10Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.
11 iNe bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.
12Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.
13Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.
14Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.
15 jNe bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.
16 kNe bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.
17 lBwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.
18Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.
19Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.
20 mBwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.
21Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.
22Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.
23Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.
24Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.
25Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.
26Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.
27Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.
28Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.
29Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.
30 nNe bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.
31Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.
32Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.
33 oNe bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.
34Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.
35 pNe bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.
36 qNe bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.
37 rBwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu. 38 sAwo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 39Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.
40 tKabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.
41Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.
42Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.
43 uNe bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.
44 vNe bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.
45Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.
46Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.
47 wNe bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.
48 xBwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko. 49 yNe basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.

50Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti, 51 z“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani; 52 aamugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza. 53 abEnsi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini. 54 acEnsi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.

55 ad“Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga. 56Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”

Copyright information for LugEEEE